Ekirwadde kya Cholera (Kkolera) abamu bakiyita Ekinyaga. Ekinyaga, ekimanyiddwa ennyo nga Kolera (Cholera), kirwadde ekikwata mu byenda nga kireetebwa obuwuka obuyitibwa Bacterium vibrio cholerae.[1]

Ekirwadde kino kigwa bugwi, era kirabikira mu bbanga eriri wakati w'ekitundu ky'olunaku n'ennaku ettaano nga kimaze okukwata omuntu. Ekirwadde kya Cholera kikosa bantu bokka; tekikwata bisolo birala, era omuntu afunye ekirwadde kino n'atajjanjabibwa, omubiri gwe guyinza okuvaamu liita z'amazzi eziri wakati w'ekkumi okutuuka kw'abiri (10-20) mu lunaku lumu! N'ekirala, singa Cholera ajja n'amaanyi ate n'atajjanjabwa ,asobola okutta abalwadde ebitundu ataano ku buli kikumi (50/100).

Obubonero bw'ekirwadde kya Cholera

Engeri Cholera gy'akwatamu

Okwewala Ekinyaga

Ekinyaga mu Uganda

Ekinyaga mu Uganda kitogomya nnyo abantu. Kisinga kuyiikiriza bantu abali mu bitundu eby'ebibuga. Kyakusaalirwa nga mu bitundu by'ebibuga bya Uganda obukyafu mwe businga obungi. Kiri bwe kityo kubanga abantu bakwata bugi ebisaaniiko era n'empitambi (obubi) bamala gabusuulasuula. Abalala balya ebyokulya ebicaafu n'okunywa amazzi agatali mafumbe. Abamu amazzi baganywa tebamanyi nga banywa ago agatundibwa mu buveera wamu n'obutunda obukamule ng'ababitegese bamala gakozesa mazzi ge basanze.

Ekituufu kiri nti ekirwadde kino kisobola okwewalibwa bwe tuba nga obuyonjo tubukwasizza maanyi.

  1. https://en.wikipedia.org/wiki/Wikipedia:WikiProject_Medicine/Translation_task_force/RTT/Simple_cholera